Christian Kreutz atunuulira engeri omulembe gw’ebyempulizaganya eby’omungalo (amasimu) bwe gukyase wabula ne gufuuka kanaaluzaala mu nsi ezikyakula…
Annyonnyola nti embeera y’okulwanirira okutumbula ebyempuliziganya bino ekyase ennyo mu nsanji zino ejja kusebeengerera mpola olwo ebintu bidde mu mbeera eya bulijjo. Newankubadde kiri kityo, essimu ez’omu ngalo zijja kusigala nga zamugaso nnyo mu byempuliziganya n’okutumbula obumu mu kunoonyereza, okumanyisa n’okukunga abantu. Mu mbeera eno, abantu abasinga obungi mu nsi za Africa batandise okwettannira essimu ez’omu ngalo newankubadde emigaso zaagyo mingi tebannagiyiga. Kyokka ebintu bina bisaanye okutunuulirwa bwetuba bakwekkaanya engeri enkozesa y’amasimu gyeyinza okukulaakulanamu mu biseera eby’omu maaso.
Ekisookera ddala kwe kulwana obwezizingirire okulaba nga tutondawo ebikozesebwa eby’enjawulo okuva mu tekinologiya aliwo kati. Okugeza Bannakenya baayiiya Ushahidi eyeeyambisibwa okulinnya obutabanguko obwava mu kulonda pulezidenti ku ntandikwa y’omwaka 2008 ku nfeete. Ekyokulabirako ekirala kye’kya Feedelix eyagunjizibwawo gavumenti ya Misiri bwe yali eyagala okulumika obubaka obuweerezebwa ku masimu (soma SMS). Omulembe ogw’okubiri gwegw’okweyayambisa amasimu okuwandiika n’okutereka obubaka obufa ku bintu eby’ejawulo gamba nga tekinologiya wa mPedigree ne LUCAS asobola okukozesebwa ku masimu okwekenneenya omusaayi. Ogw’okusatu gwegw’okukozesa amasimu okubunyisa amawulire mu bitundu eby’enjawulo. Kino tivvi ya NTV mu Kenya yakitandika dda nga bannamawulire baayo yabawa ebyuma (amasimu) kwe bawweerereza amawulire buli kadde nga bwe bagasaka.
Wabula Christian Kreutz amaliriza annyonnyola nti emiziziko egy’enjawulo omuli abantu obutamanya kusoma na kuwandiika ssaako ssente ennyingi ezeetagisa byandizing’amya kaweefube ono.

About the author: Aaron Timothy is a journalist, blogger and new media professional living in Kampala, Uganda.
This entry was posted in Luganda and tagged language, tech. Bookmark the
permalink. or leave a trackback:
Trackback URL.
Okulwanira Empuliziganya Y’omungalo, N’okutataganyizibwa Kwayo