Nkola ya maanyi. Bwoba nga omulimu gwaweddewo mu bimu ku bitongole byabwe e Bulaaya, IBM egenda kukuyamba okukyuusa okolere mu mutale obupya, okusingira ddala mu Buyindi, China ne Brazil. IBM yaakawummuza kumpi abakozi 4,000 kasookedde omwaaka gutandika era nga waliwo obubonero nti kino kikyagendera ddala mu maaso. Mu kugezaako obutakola bubi nnyo, bataddewo enteekateeka eno ewulikika nga ennungi naye mumazimu kakodyo ka maanyi okujja abakozi mu butale bw’ebulaaya okugenda mu mawanga amalala gyebanabasasulira emisaala okusinziira ku mawanga ago era nga gya wansi nnyo nga ogerageranyizza n’amawanga ge baba bavuddemu. Kakodyo ka kufuna, naye bakakoze bulungi…
Mu nkola eno eyitiddwa Project Match, IBM ejjakuyamba abakozi abagobeddwa gyebabadde (mu matabi ga IBM gennyini). Baakuyambibwa mu kufuna entambula ne viza z’amawanga kampuni eno (nga yakazibwaako Big Blue)gyelina amatabi. Okusinga ekyo kitegeeza obutale obukula nga Buyindi, China ne Brazil.
“IBM etaddewo Project Match okubayamba okulaba emikisa gy’emirimu mu butale obukyaakula obusobozi bwammwe gyebuli obwettunzi,” IBM bwegamba mu kiwandiiko ekyomunda. “Ssinga okkiriza ekifo mu limu ku mawanga gano, IBM yaakukuwa obuyambi mu misoso gy’okutambula, mu bya viza n’obuyambi obulala okwanguya okugenda mu ggwanga eryo.”
Ekiwandiiko kigamba nti omukisa guno guli eri “Abakoze obulungi era nga bategezeddwaako okwawukana ku kampuni eno mu bitunda bya Amerika oba Canada ate nga beetegefu okukolera mu mbeera n’obukwakkulizo bwebitundu bye bagendamu.” Kino kitegeeza nti abakozi baakusasulwa okusinziira ku nsasula mu mawanga ago gebaba bagenzeemu. Mu bitundu ebisinga, kino kitegeeza nti baakusasulwa sente ntono nnyo okugeraageranya ne gye babadde mu mambuka g’Amerika.

About the author: Kwagala Derrick is a Ugandan computer-scientist (Programmer), social entrepreneur and educator. He's passionate about Information Technology literacy & Professionalism, mobile and Internet accessibility for all on the multilingual-multicultural African Continent.
This entry was posted in Luganda. Bookmark the
permalink. or leave a trackback:
Trackback URL.
“Project Match” etwaala abagobeddwa mu IBM eri amawanga agakyaakula