Jason Calacanis gyebuvuddeko yawandiika ku bukodyo 17 obuyinza okukozesebwa okutaasa kampuni empya okuddukanyizibwa obulungi. Obukodyo buno bwandeetera okulowooza. Ku bino waliwo ebikwaata ku bizinesi yange wano mu Uganda? Oba bwekiri, kakodyo ki era lwaaki? Nnakizuula nti bungi bunkwaatako. Kampuni eno ngijje wansi nnyo, era nakati ngezaako okugyongerayo olwaabo abanteekamu ensimbi aba Kuv Capital n’olweekyo mbeera nokuteebereza ku ngeri yokukendeezaamu ensaasaana. Nsazeewo okuwandiika nga Calacanis ku Afirika, okusingira ddala Uganda, nga mbawa obukodyo bwenkozesa okukuuma kampuni entono wano…
Gula lap top ezikozeeko, ziteekeko ram (obusobozi okuddukanya emirimu) amala n’ebirala ebyetaagisa. Mu bitundu ebisinga wano mu Afirika, amasannyalaze tegamala era nga gabeera gavaako buli kiseera. Bu kalimagezi bwa lap top wano buba bulungi engeri gye bulina batule etereka ku masannyalaze. Nekirala, yintanenti bwekendeera oba n’evaako, osobola okuweereza abakozi bo mu bu kafe gye baba bakolera tofiirwa enaku. Mu mirimu gya ofiisi egisinga, amaanyi ga kompyuuta ssi kikulu, kye wetaaga ye kompyuuta erina ram omungi ne wootereka byookola. Ne mu kampuni ya sofutiweya nga eno, abakozi bange bonna bakozesa kompyuuta ezitasukka ku nzirukanya ya 2ghz. Oyinza okugula ekyuuma kyamaanyi kimu naye ebiseera ebisinga kino tekyeetaagisa. Ekirungi lap top zisobola okukozesebwa buli wamu. Nnina abakozi abamu abakolera awaka mu ngeri y’emu gyebakoleramu mu ofiisi. Kino kitaasa ebiseera, era kiyamba emirimu okuggwa amangu, ekikendeeza kunsaasanya.
Gula akuuma akakuuma amasannyalaze ka “inverter”. Wano mu Kampala, tufiirwa kumpi essaawa 5 buli wiiki olw’amasannyalaze okuvaako. Ezo ssaawa 20 buli mweezi, kumpi lunaku lulamba. Mu mwaaka omulamba, kiteeza kumpi ekitundu kyomweezi kyosasula abakozi okutuula obutuuzi nga tebalina kye bakola. Balamu awo. Mu butuufu, gyeweyongera okusaasanya ku inverter ne batule zaayo, gye yeyongera okuwangaala. Nnina mukwano gwange eyasaasanya kumpi ddola 5000 ku ngeri y’okunogera amasannyalaze eddagala. Ewuwe tewabaayo kufiirwa lunaku lwa masannyalaze.
Pangisa omufumbi. Ebibuga ebisinga mu Afirika birina ebizibu by’obulippagano bwebidduka. Ne bwoteekawo essaawa y’okulya ekyemisana abantu abasinga bakerewa oba bamala ebiseera bingi okufuna ekyemisana. N’olweekyo, mpangisizza omufumbi ku ddoola nga 100 buli mwezi. Nsaaasanya nga ddoola 300 buli mweezi ku mmere naye ate ekyo nkitadde mu misaala gya buli omu. Ekyo kitegeeza nti abakozi be basasulira ekyemisana, nze nkibatuusaako butuusa.
Beerawo ne kaawa n’obwokulya. Mbeera n’obuweereza bwa kaawa omulungi, obwokulya, soda, nebirala ebiseera byonna. Abantu bwe bakola ekiro oba bwe baeera n’obwokugaayako olunaku lwonna, kiyamba okukendeeza ku biseera bye bamala nga bafuluma ebweeru okubinoonya. Kino kiddayo ku bulippagano bwebudduka naye era kikendeeza ku kutabagana n’abantu abalala wabweeru womulimu. Mu butuufu, kyongera okutabaganya abantu ku mulimu engeri gye batuula ku mmeeza emu okulya.
Gamba abakozi okuwummulangamu eddakiika nga 5 oba 15. Nkimanyi nti okusinga ffe abakozi ba sofutiweya, tulina omuze gwokukola ennyo. Ekiseera kituuka nga tolina kinene kyokola, obeera olowooza mu ngeri yemu ekiseera kyonna. Bwe ntambulako ebweeru mu mawanga ntera okugula obutabo nga WIRED, FASTCOMPANY, n’obutabo obulala okuleeta wano. Mbutereka awantu we wamu ne wentereka amawulire ga kuno nga monitor ne new vision. Kino nkikola lwakuba njagala abakozi bange bawummuze ebirowoozo nga tebannaddayo ku kizibu kubanga ebiseera ebisinga ekyo kye wetaaga okutunuulira ebintu mu ngeri endala. Nsubira nti kino kireetawo enkola ennung’amu.
Kozesa sofutiweya w’obwereere. Bwoba olowooza okutandikawo kampuni mu Afirika, okujjako nga olinawo ku bukadde bw’ensimbi mu ntandikwa (n’ebwooba nga ozirina) kijja kukutaasa sente mpitirivu okwewala sofutiweya aliko okugula layisinsi. Naddala ssinga kampuni eyo ekolera bweeru wa ggwanga eryo. Ensimbi zookozesa okuzza obujja layisinsi, oba okufuna obuyambi mpitirivu nnyo. Kozesa sofutiweya ow’obwereere era funa kampuni y’awaka esobola okukuwa obuyambi okuddukanya sofutiweya ono. Oba tosobola kufuna kampuni eyo, funa omuntu w’obumanyirivu gwemusobola okwebuuzangako.
Bwoba osobola, ggulawo ssaawa 24. Appfrica labs teggalwaawo. Kale, ssinaba kukola bisimuluzo bya buli omu naye engeri gyendi nti nsula kumpi nnyo n’omulimu, ate nga ssirina buzibu okulaba nga abantu bayingira ekifo webaagalira. Engeri abakozi gye bamanyi nti basobola okuyingira webaagalira, oluusi bakola okusussa obudde bwa bulijjo, ekikendeeza ebiseera wamu n’ensaasanya.
Kozesa bayizi. Appfrica labs yatandika okuwandiika abayizi abaalaga essuubi mu ntandikwa okubayamba okweewala okufuluma okuyingira akatale akatali ka muzannyo eri abaana abato abakayingiramu. Kye nnayize kye kyokuba nti abantu bano tebalina bumanyirivu, naye ate balina okwewaayo, wamu nebirowoozo ebirungi. Ssigamba nti abantu abakulu era nga balina obumanyirivu ssi balungi, naye oluusi bakaddiwa. Ku mulimu gwange njagala nnyo abavubuka bano olwamaanyi ge balina.
Lamuza. Amawanga agasinga mu Afirika galina enkola y’okulamuza. Bw’oba ogula kompyuta, entebe, emmeeza, emmere n’ebirala, bw’oba ogula mu bungi, fuba okulaba nti olamuza ekimala. Ebiseera ebisinga ojjakufuna ebbeeyi ennungi. Bwekiba kisoboka, gezaako okulaba nti okolagana ne nnanyini dduuka. Ebiseera ebisinga bajjakkuwa enkola abakozi baabwe eyinza okubagobesa ssinga baba bagikuwadde.
Wandiika mirimu gya kiseera, towa bantu mirimu gya lubeerera. Akakodyo kano kajja kunyiiza bangi naye nkalemerako. Mukifo kyokubeera n’omutawaana gw’okuwa abantu emirimu, bawe kya kukola okumala ekiseera. Kizibu okugoba abantu, ate era kizibu nnyo okugamba omuntu nti togenda kumuwa mulimu oluvannyuma lw’okugezesebwa. Mu ngeri eno tebalina kye basuubira kitaliiwo ate era bakola nnyo okukulaga nti basaanye baweebwe ekisingawo. Kino nkiyize mu ngeri enzibu ennyo.
Kola embalirira y’entambula. Kye nnava ntandikawo embalirira y’entambula kye ky’okuba nti abantu abasinga
Okukekkereza Sente ku Bizinesi Empya mu Afirika

Share and Enjoy: