Ebyennyanja binaayita omuvubi

Abavubi mu ggwanga lya Kenya bayinza obutaddamu kunoonya byennyanja. Nga olupapula lwa The Nation bwe lwawandiika; Wummula, Ebyennyanja bijjakuyita Obuvubi.

Pascal Katana nga asoma by’amasanyalaze mu Univasite ya Nairobi akoze tekinologiya asobola okukyuusa engeri okuvuba gye kukolebwa mu Kenya. Omutego guno gusikiriza ebyennyanja nga gugeegenya amaloboozi ebyennyanja bye gakola nga birya. Kino kisikiriza ebyennyanja okujja. Omutego guno gwaakolebwa mu byuuma bya ladiyo ne kompyuta ebyaafa.

“Amaloboozi gano tegawulibwa matu gabantu, naye gasikiriza ebyennyanja ebirala, nga ebyennyanja bino bijja okugabana ku byokulya,” bwe yategeezezza bannamawulira ba Nation ku Kenyatta International Conference Center ku ntandikwa y’omusomo ku kubunya ebiva mu kunonyereza n’okwolesa ebintu ebipya. Olukung’aana luno lusikirizza amatendekero agenjawulo mu ggwanga eryo.

“Omutego guno gusikiriza ebyennyanja, oluvannyuma negunyiga akantu akalimu essimu ekweekeddwaamu awo enamba y’essimu eyateekebwaamu ne yeekuba, okulabula omuvubi wa ebyennyanja webiri”

“Nga okozesa tekinologiya ono, omuvubi teyeetaaga kusula ku mulo nga alinze ebyennyanja. Byo byennyini bye binamukubira essimu!” bwe yayongerako.

Wabula tekimanyikiddwa oba ekintu kino kinaatuukagana n’omutindo gw’obuvubi. Ebiseera ebiyise, ennyanja eziri mu buvanjuba bwa Afirika zibadde n’obuzibu bw’ebbula ly’ebyennyanja ekyaleetera ob’obuyinza okuteekawo amateeka agakugira okuvuba ennyo, naddala obwennyanja obuto. Mu Uganda, okukozesa obutimba obutono musango. Naye ate kye kimu ku mateeka amazibu okutuukiriza, kubanga abavubi batera okufuna engeri gye bamenyaamu etteeka lino.
Omuyizi ono asana asiimibwe olw’okujja n’ekintu ekipya, wadde nga batono abandilowozezza nti asobola okukikola.

Share and Enjoy:
  • Twitter
  • Digg
  • del.icio.us
  • Facebook
  • Google Bookmarks
  • muti
  • StumbleUpon
About the author: Kwagala Derrick is a Ugandan computer-scientist (Programmer), social entrepreneur and educator. He's passionate about Information Technology literacy & Professionalism, mobile and Internet accessibility for all on the multilingual-multicultural African Continent.
This entry was posted in Luganda. Bookmark the permalink. Post a comment or leave a trackback: Trackback URL.

This website uses IntenseDebate comments, but they are not currently loaded because either your browser doesn't support JavaScript, or they didn't load fast enough.