Kakuyege Kukolebwa ku Mpewo

Anne Mugisha munnabyabufuzi bwa Uganda naye nga abeera mu ggwanga ly’Amerika. Gye buvuddeko yawandika nga bwatera okukola mu lupapula lwa Observer nga agamba nga abantu abamu bwe bewuunya nga basanze ebifananyi ku kibanja kye ku mukutu gwa facebook. Ebifananyi bino byali bya mukolo ogwaali gubaddewo eggulo limu mu ssomero gye yasomera wano e Uganda. Agamba nti yabijja mu bbaluwa ya email mukwano gwe eyali ku mukolo guno ne kamera wamu n’akasimu gye yamuweereza. Ayongerako okugamba nti yakizuula nti tekinologiya asobola okukozesebwa okukola kakuyege mu byobufuzi era nakuutira bannabyabufuzi banne abali ku ludda oluvuganya gavumenti okukozesa akakisa kano.

Ekibiina ekifuzi mu ggwanga lya South Africa ekya African National Congress nakyo kyagamba nti kyatuuka ku buwanguzi gyebuvuddeko mu bululu obubaddeyo lwa kukozesa nnyo tekinologiya okusaasaanya kakuyege waabwe. Omwogezi wa pulezidenti Jacob Zuma nga ye Zizi Kodwa agambibwa okuba nga yagamba omukutu gwa itnewsafrica nti…

Nga ojjeeko okukozesa akasimu ke aka N95 okukuba amasimu oba okuweereza obubaka, Mw. Zuma yakozesa kalimagezi wa lap top nga eyungiddwaako yintanenti buli lwe yatabaala eggwanga mu biseera bya kakuyege. Yayogeraganya nnyo n’abakulembeze b’amawanga amalala nga akozesa ebintu bino.

Bulijjo nzikiriza nnyo nti tekinologiya asobola okukola obulungi kakuyege okuva Barrack Obama lwe yakikola obulungi okufuna obukulembeze bw’Amerika. Pulezidenti Obama yasobola okutuukirira buli muntu “mu buliwo” nga akozesa emikutu nga facebook, you tube, essimu ye wamu n’ebirala.

Tumanyidde nnyo enkola eya bannabyabufuzi okutabaala ebitundu byaabwe nga ye ngeri yokka okuweereza obubaka bwabwe. Naye nga enkulaakulana empya bwejja, kakuyega ayinza okudda mu nju. Obusimu busobola okukozesebwa kubanga abantu abasinga bagalina. Nkwaagaliza birungi Anne.

Share and Enjoy:
  • Twitter
  • Digg
  • del.icio.us
  • Facebook
  • Google Bookmarks
  • muti
  • StumbleUpon
About the author: Kwagala Derrick is a Ugandan computer-scientist (Programmer), social entrepreneur and educator. He's passionate about Information Technology literacy & Professionalism, mobile and Internet accessibility for all on the multilingual-multicultural African Continent.
This entry was posted in Luganda. Bookmark the permalink. Post a comment or leave a trackback: Trackback URL.

This website uses IntenseDebate comments, but they are not currently loaded because either your browser doesn't support JavaScript, or they didn't load fast enough.