Bing Ssi ya Kukola

“Naye ssi Google” bwe bugambo bw’okusaaga obukozesebwa abamu mu bya tekinologiya okunnyonnyola omukutu gwokunoonya ogwatandikiddwaawo aba Microsoft, nga guyitibwa Bing. Microsoft esaasanyizza obukadde bwa ddoola 80 mu kulanga omukutu guno, enkumi z’obukadde bwa ddoola mu kufuna ebikozeso (baafuna Powerset omwaaka oguwedde) era bamaze ebbanga erisukka mu mwaaka nga bakulaakulanya kakuyege waabwe ow’okumegga Google nga ba kabaka b’okunoonya ebintu ku yintanenti. Ebyembi, buli kiwandiiko kyensomye mu ssaawa 48 eziyise ekikwaata ku nkola eno kyongera kukkaatiriza ekyo(nti baagala kumegga Google). Kumpi tewali n’omu annyonnyola ngeri ki gye bagenda okuba abasingako ku Google, ngeri ki Bing gyeyawukanako, oba mugaso ki gwerina. Kankulage obukakafu wano mu bifaananyi.

Ssi kya njawulo nnyo.

Wewaawo wano wandibaawo ensonga ennungi eyekyo. Ye nsonga lwaaki wabaawo Burger King kumpi nnyo ne McDonald’s (abeevugannya nga bali kumpi). Ssi kibi nnyo abantu abamu okkusuubira okuba ate omuntu oyo gwovuganya era kirabika nti Microsoft egezaako kuleetawo enkola y’emu nga Google, abantu abagigendako omulundi ogusooka esobole okubanguyira. Kati ssisobola kugikozesa ebeera eng’amba nti ejja (okuvvuunula bino wekukoleddwa nga omukutu gukola.) naye okusinziira ku byendabye wano, ssegomba kukyuusa. Ekizibu kunze kwe kuba nga nsobola okwaawula Bing ku Google oba ne Yahoo. Era nga tebalina nkizo mu kuvuganya, bali mabega gyebatandikira me MSN eyalemwa n’endala eyagezaako eya Live Search. Microsoft enasobola okujjawo Google? Ssisuubira, era abantu abalala bwe baba nendowooza y’emu, ekyo tekiyamba Microsoft n’akamu.

Kati ekigambo kino kinzigira mu birowoozo okunoonya. cuil

Share and Enjoy:
  • Twitter
  • Digg
  • del.icio.us
  • Facebook
  • Google Bookmarks
  • muti
  • StumbleUpon
About the author: Kwagala Derrick is a Ugandan computer-scientist (Programmer), social entrepreneur and educator. He's passionate about Information Technology literacy & Professionalism, mobile and Internet accessibility for all on the multilingual-multicultural African Continent.
This entry was posted in Luganda and tagged . Bookmark the permalink. Post a comment or leave a trackback: Trackback URL.

This website uses IntenseDebate comments, but they are not currently loaded because either your browser doesn't support JavaScript, or they didn't load fast enough.