Web 2.0 Ebuzaabuza ba Kafulu

Kiki ekiri mu web 2.0? Okunonyereza kulaga nti baakafula ba tekinologiya w’amagezi g’ekikugu bangi tebalina kiddibwaamu. Ebitundu 17 ku 100 by’abakulu mu bya tekinologiya w’ekikugu 1,300 okuva mu mawanga 10 aganonyerezeddwaako be baasobodde okulondako ebyo byonna ebisobolwa okuyitibwa Web 2.0.

Zi blog wamu n’emikutu emirala egy’okwegazaanya bangi baagiyita nti giri mu Web 2.0 naye emikutu emirala nga iGoogle ne Wikipedia bangi tebaagiyita. Ebitundu 50 ku 100 be baayita emikutu egiteekebwaako ebifananyi bya vidiyo nga You Tube nti giri mu web 2.0. Alipoota era eraga nti wadde nga ebitundu 95 ku 100 bya bizinesi zikkiriza Web 2.0 ku mulimu, ebitundu 9 ku 100 bya zi bizinesi ze zirina enkola y’okwewala obuzibu obuyinza okuva ku Web 2.0.

Alipoota mu bujjuvu eri wano.

Share and Enjoy:
  • Twitter
  • Digg
  • del.icio.us
  • Facebook
  • Google Bookmarks
  • muti
  • StumbleUpon
About the author: Kwagala Derrick is a Ugandan computer-scientist (Programmer), social entrepreneur and educator. He's passionate about Information Technology literacy & Professionalism, mobile and Internet accessibility for all on the multilingual-multicultural African Continent.
This entry was posted in Luganda. Bookmark the permalink. Post a comment or leave a trackback: Trackback URL.

This website uses IntenseDebate comments, but they are not currently loaded because either your browser doesn't support JavaScript, or they didn't load fast enough.