Vivendi ewaddeyo okusaba kwaayo okugula kampuni y’ebyempuliziganya mu Afirika eya Zain, nga baagala omugabo ogusinga mu kampuni eno. Amawulire ga Financial Times gagamba nti…
Vivendi erina emigabo mu Maroc Telecom egisobozesa okuddukanya kampuni eno, nga ye kampuni y’amasimu esinga obunene mu ggwanga lya Morocco. Kampuni eno erina n’amatabi mu Burkina Faso, Gabon wamu ne Mauritania. Vivendi era erina ebitundu 55 ku 100 mu SFR, kampuni y’amasimu eyokubiri mu bunene mu ggwanga lya Bufaransa nga Vodacome yerina ebitundu ebirala 45 ebisigadde.
Vivendi “yeyongera okukakasa obwagazi bwaabwe mu kufuna emigabo eb=gisinga obungi mu byempuliziganya bya Zain mu Afirika, nga kino kikwaatagana n’enkola eyokweyunira enkulaakulana mu mawanga agakyaakula”, ekibiina kino bwe kyategeezezza.
Enkola eno eba ewa Vivendi abantu obukadde 40 mu mawanga ga Afirika 15.
Kino kyongereza ku muko gyebuvuddeko ogwagamba nti Orange Telecom yali yakusaba okugula Zain.

About the author: Kwagala Derrick is a Ugandan computer-scientist (Programmer), social entrepreneur and educator. He's passionate about Information Technology literacy & Professionalism, mobile and Internet accessibility for all on the multilingual-multicultural African Continent.
This entry was posted in Luganda. Bookmark the
permalink. or leave a trackback:
Trackback URL.
Vivendi ya Kwenyigira Muby’empuliziganya mu Africa