Kiyinza okuba nga ekivumo okugamba nti kampuni engagga ennyo nga Google etandise okukula naye mpuliriza.
Ekimu ku bintu ebibadde bisinga okuvumaganya Google kya kuba nti tebabadde ne nkola essuka ku kunoonya (Google search). Okutuuka leero, bwentyo bwembadde nkiraba. Naye okuva olwa leero endowooza eyo erina okuziikibwa oluvannyuma lw’ekirango ky’omuggukano (Google Chrome Operating System). Buli omu alina okuba nga akiraba nti Google egenze ekula okufuuka kampuni eyeyimirizzaawo mu byonna sso ssi kulanga bulanzi ku yintanenti. Kwe kugamba, Microsoft weeremereddwa okuyingira enkola za Google (okunoonya) mu ngeri ey’obuvunanyizibwa okumala emyaaka omukaaga egiyise, Google eyingiridde Microsoft na maanyi.
Baasooka na Android, awo Google neyeng’anga bulungi Microsoft (wewaawo ne Apple) mu by’obusimu bw’omungalo. Bwe baaleeta omutimbagano gwa Chrome, awo baakwaatagana ne Internet Explorer eya Microsoft, Safari eya Apple, wamu ne munywani waabwe okumala ebbanga eddene nga ye Mozilla Firefox. Ssi awo wokka naye ate Gmail ne Google Apps byegasse okuva ku beta awo ne beyongera ddala okuvuganya ne kampuni ezimenyeddwa waggulu wamu n’endala.
Kati kino Google kigiteeka wa mu nkola?
Enkola ya Google mu Kunoonya
o Okunoonya (Search)
o Adsense
o Gmail
o Apps/Docs
o Vidiyo
Enkola ya Google mu sofutiweya
o Google Desktop
o Android
o Maps/Earth/Latitude
o Chrome
o Chrome (omuggukano)
Wewaawo Google era eri mu kugezeseza enkola za bizinesi endala nga mu masimu, okukubisa (print), Google Search Appliance wamu ne Google Mini, naye tewali emu ku nkola ezo oba ebivaamu egenda kubeera na nkizo nnyo ku kampuni ennene nga eyo. Wabula, kirabika Google evvuddeyo na maanyi mu ngeri empya . Bayiiyizza, naddala nga Bing eya Microsoft ebali ku bukongovvule mu kunoonya (search).
Ogumu ku mitwe gy’amawulire egisinze okunkyamula leero gwe “Google esudde bbomu ku Microsoft. Ate ekoleddwa mu Chrome”.

About the author: Kwagala Derrick is a Ugandan computer-scientist (Programmer), social entrepreneur and educator. He's passionate about Information Technology literacy & Professionalism, mobile and Internet accessibility for all on the multilingual-multicultural African Continent.
This entry was posted in Luganda and tagged chrome, google. Bookmark the
permalink. or leave a trackback:
Trackback URL.
Google Essajjawadde