Ani Anaakuuma Kompyuta Zaabwe nga Zitambula Okukuuma Eddembe Ly’okwoogera

Okwetoloola ensi, abalina ebibanja ku yintanenti bagamba nti gyebuvuddeko, Russia yakola olulumba ku Facebook, YouTube, LiveJournal, wamu ne Twitter okusirisa omuwandiisi awagira eggwanga lya Georgia nga ye Cyxymu.

Nga ensi yeyongera okubeera n’emikutu egigigatta, gavumenti zeyongera okwogera ku ntalo z’oku yintanenti, era mu butuufu, tukirabye nga kikozesebwa mu lutalo olusukka mu lumu. Wabula, ekyeyongera okweralikiriza bwe bulumbaganyi ku ddembe ly’okwogera nga bwolekeddwa abantu bano. Wadde nga abawagira Russia basobola okujja Georgia ku mpewo okumala ennaku, ebiva mu kunyigiriza amaloboozi agaawukana bijja kuba bibi nnyo nga biteekeddwa ku bantu ssekinnomu.

Ssi buli gavumenti enyigiriza ejja kukola obulumbaganyi nga buno eri enkola ezimanyiddwa ennyo, naye kiki ekibaawo nga Twitter, YouTube, ne Google bisazeewo nti tekikyaalina mugaso okusigaza omuntu omu ku mpewo, ssi mu bulumbaganyi mwokka, naye ne era nga buwedde? Amaloboozi agawakanya ganaasobola gatya okusigala ku mpewo?

Eri abo abababeera era abakola mu mawanga nga okussa ekitiibwa mu ddembe ly’okwegazanya kutono, omugaso gwa yintanenti gwesigamye ku kutuukirira abantu abangi nga era ba mitendera gya njawulo. Google enalwanirira abawandiisi ne bannamawulire abawandiika endowooza eziwakanya ku Blogger, YouTube, n’emikutu emirala ku mukutu gwaayo omunene, naddala nga ebyenfuna byaayo biri ku mpewo nga mu Chayina? Emikutu nga Twitter, egirina ebizibu byaayo ebibazza emabega, ginaasobola okukuuma akawunta z’abantu baabwe abalumbibwa nga nzigule?

Nga obulumbaganyi eri ba ssekinnomu bweyongera, abakulira emikutu gino banaayanukula batya? Era tunayamba tutya abatalina bwogerero okufuna awalala webegazanyiza ku mpewo?

Share and Enjoy:
  • Twitter
  • Digg
  • del.icio.us
  • Facebook
  • Google Bookmarks
  • muti
  • StumbleUpon
About the author: Kwagala Derrick is a Ugandan computer-scientist (Programmer), social entrepreneur and educator. He's passionate about Information Technology literacy & Professionalism, mobile and Internet accessibility for all on the multilingual-multicultural African Continent.
This entry was posted in Luganda and tagged . Bookmark the permalink. Post a comment or leave a trackback: Trackback URL.

This website uses IntenseDebate comments, but they are not currently loaded because either your browser doesn't support JavaScript, or they didn't load fast enough.