Firimu ya District 9 nga yazannyibwa mu South Africa ya mulembe nnyo. Awatali kubuusabuusa kino kirungi nnyo eri Neill Blomkamp (ka-CHING!) naye liyinza okuba eddaala eddene eri abakozi ba firimu e South Africa. Wetuwandikira bino nga firimu eno emaze okuteekebwa mu firimu 100 ezisinga obulungi ezaali zibaddewo nga okusengeka kuno kwakolebwa IMDB.com. Omuwandiisi omu mu New York Observer awandiika “District 9 ye firimu ya sayansi ekyasinze okukyamula abantu mu myaaka mingi; firimu esinga obulungi gyendabye omwaaka guno.”
Naye okukiteeka mu lulimi lw’ebyenfuna, firimu yakolebwa ku ddoola z’amerika obukadde 30, kati emaze okukola obukadde 47, sabiiti yaayo egguddewo. Bwoba toyagala kumanya biddako lekera awo okusoma.
Ebiri mu firimu
Firimu eno yetoloolera ku busajja obumpi bu aliyeni nga bujja ku nsi ne bugwa e Johannesburg mu South Africa. Tewayita kiseera kiwanvu (myaaka 28) nga ab’obuyinza babwaawula babutwaala mu kifo ekiyitibwa District 9, bwawulibwe ku bantu ba bulijjo. Ekisooka okulowozebwa ku firimu eno kye ky’okuba nti yesigamye ku busosoze mu langi naddala mu District 6 eya Cape Town (Okifunye? 9 ye 6 evunikiddwa). Mu Cape Town, abatuuze 60,000 basengulwa ku kifuba nga okusengulwa kuno kugoberera langi oba omuntu gyasibuka. Mu firimu, okwawulwa kukolebwa wakati wa ‘abantu’ ne ‘abatali bantu’ paka nga ekintu kyonna kyononese…
Twayogera ku District 9 gyebuvuddeko mu gw’okuna ku muko “Sci-Fi in South Africa”

About the author: Kwagala Derrick is a Ugandan computer-scientist (Programmer), social entrepreneur and educator. He's passionate about Information Technology literacy & Professionalism, mobile and Internet accessibility for all on the multilingual-multicultural African Continent.
This entry was posted in Luganda and tagged sci-fi. Bookmark the
permalink. Both comments and trackbacks are currently closed.
Firimu ya District 9 Eyingiddewo