Nokia erangiridde Nokia Money, enkola empya enasobozesa abalina amasimu okuwereze n’okufuna sente nga bakozesa namba ya ssimu yabwe. TechCrunch ewandiise nti Nokia ya kutandika enkola eno mu 2010.
Enkola eno yakukozesa kakisa k’abantu abangi abalina amasimu naye nga tebalina akawunta mu banka. Okusinziira ku kirangiriro:
Abantu bomu byaalo be bajja okusinga okuganyulwa mu nkola eno. Ab’omubibuga ababadde bamanyidde okukozesa ennyo yintanenti, tugenda kusobozesa okusasulira ebintu nga amazzi n’amasanyalaze, okusasulira tiketi y’eggaali y’omukka oba baasi, ebyo byonna nga kikolebwa ku ssimu. Nokia Money nyangu ya kukozesa, yesigika era nga yakukolera ku mikutu gy’amasimu agenjawulo era nga kumpi ku buli kika kya ssimu. Kino kitegeeza nti obukadde bwabantu abapya bajja kusobola okuddukanya ebyensimbi nga bakozesa ssimu zaabwe.
Nga bwe kiri nti kino kiwandiiko buwandiiko eri bannamawulire, ssisaanye kuyisibwa bubi nnyo nti tekinnyonnyodde bulungi engeri enkola eno gyenakola. Ebyempuliziganya bya kuvuganya nnyo. Waliwo amasimu ga buli wendi nkufuna, abakugu mu kutambuza ensimbi, wamu nabo kati abakola ebintu ebireetawo okuvuganya okwamaanyi.
Ekya Nokia kirina okwesungibwa ennyo olwokuba nti ebintu byabwe bingi nnyo mu butale obukyakula. Ssinga ddala kiba nti enkola eno tegenda kwesigama ku mukutu gwa byampuliziganya gwonna, ekibadde kitannakola mu Afirika, Nokia eyizze nsava.

About the author: Kwagala Derrick is a Ugandan computer-scientist (Programmer), social entrepreneur and educator. He's passionate about Information Technology literacy & Professionalism, mobile and Internet accessibility for all on the multilingual-multicultural African Continent.
This entry was posted in Luganda and tagged nokiamoney. Bookmark the
permalink. Both comments and trackbacks are currently closed.
Nokia eyingidde Muby’okutambuza Ensimbi