Dawn Douglass gyebuvuddeko yabuuza, “Ebya omutimpagano gwa yintanenti (web) biyinza bitya okuba ‘ebiggule’ nga ate abavubuka abazungu be basalawo kiki web kyerina okuba?”
Mmala ebiseera bingi nga ndowooza ku bya tekinologiya. Buli lukya, ekintu ekisooka kye nkola kwe kuggulawo omukutu ogumpa amawulire okuva mu mikutu gya tekinologiya gye njagala. Bwemba ssisoma ku tekinologiya, mbeera mu kubiwandiikako wano. Bwemba ssiwandiika ku bya tekinologiya, ndi mu kuwandiika bintu bitambuza emirimu ku kompyuta (koodi), ntegeka oba ntereeza kompyuta yange, oba ndi mukuyiga kukola kintu kyembadde ssimanyi. Mbaddeko yinginiya w’amaloboozi, omukozi w’ebifaananyi, omuwandiisi ku tekinologiya, omuwandiisi ku buloogo, akola sofutiweya, nebirala. Nnaliko omu ku bakulira kampuni emu eyamaanyi mu Amerika. Ndowooza nnyo ku bya tekinologiya era muganzi wange lumu yang’amba nti abubira kompyuta yange.
Era ndowooza nnyo ku mawanga, ekikula ky’abantu wamu n’obuzaale. Nnina, era nzirukanya ka kampuni akatandikawo mu buvanjuba bwa Afirika era ka kampuni kano kagezaako okukola bizinesi n’ezimu ku kampuni ezisinga obunene mu nsi yonna. Mwekyo kijja n’okufuuwa empawa oba ddala abantu be batuufu okukola omulimu kuba balina obusobozi, oba lwakuba beetaga omukisa guno olwo abalala nga bbo basobole okufuna emikisa awantu awalala. Ekyokulabirako, mu Uganda (n’olwensonga eyo ebitundu ebisinga mu nsi yonna), abakazi ssi bangi abenyigira mu bya tekinologiya. Naye ate ndi wakati w’okuwandiika abakozi era nga nnalyetaaze abakazi n’abasajja, okwenkanya ebintu byonna. Ssinga omukazi omu awangula mu mbeera gyengezaako okukola ebintu, kiba kitegeeza nti n’abalala bajjakufuna obuvumu okubigendamu wano oba ne mu bitongole ebirala.
Wewaawo mu Uganda, ebintu byonna tebyenkana. Okuva edda, abakazi babadde n’obuvunaanyizibwa bwaabwe ate okujja wano n’endowooza zange eza Amerika tekigenda kukyuusa nneyisa ebaddewo emirembe gyonna. Amazima gali nti ne mu America, kizibu nnyo abakazi (olwensonga eziwera) okusanga emirimu gya tekinologiya nga emyangu oba mwebayinza okumalako. Kansuubire nti mu Uganda njakwenyigira mu nkola eyenjawuloko.
Mukwano gwange omu addukanya kampuni y’okukulaakulanya ebyomutimbagano gwa kompyuta eyitibwa Mountbatten. Alina abakozi abakyaala nga balina ekitone ekyawaggulu era kino ndowooza nti kiwa ekyokulabirako ekirungi eri abakazi bannayuganda. Naye waliwo ebintu bingi ebigezaako okulemesa ekintu kino okuviira ddala ku ntandikwa yaakyo. Kitandika n’obuwangwa bwaawo era n’abantu okubeera n’emirimu egibasuubirwa okukola. Era waliwo okukakibwa kungi akuva eri abantu abalala okulaba nti buli muntu atwaala obuvunaanyizibwa bwe. Kino kiba kitegeeza nti abasajja bakola, ate abakazi bebaddukanya obuvunaanyizibwa bw’awaka nga era balina abaana bangi. Kino kituufu wano, era omukazi okugaana okulekebwa mu ekyo ssaagala nakulowooza kiyinza kubaawo. Bwebatyo bamu ku mikwaano gyange bannayuganda bwe bang’amba. N’olweekyo kitegeeza nti abantu abamu bandiba abalungi mu mirimu egimu naye nga tebagezezzaako kugikola kubanga baakuzibwa nga ebintu nga ebyo tebalina na kubirowozaako, wadde nga ebintu bigenda bikyuuka.
Okukubagana empawa kuno ku kikula ky’abantu n’okwekuuma obumu mu mirimu gya tekinologiya kuncamula nnyo. Wewaawo abantu bano baali bogera ku lukonko lwa Silicon Valley n’obutale bw’Amerika, naye ssilowooza nti ebirowoozo bino biri waagulu nnyo okubigeraageranya ku Afirika.
Ekyokulabirako, emyezi mitono egiyise nagwa ku biwandiiko by’aba buloogo nga ba South Afirika nga baali boogera ku bbula lyemitwe emingi ku ntimbagano za yintanenti mu South Afirika. Byonna byansanyusa nnyo kubanga nga watutte okuwakana kwonna nokuteeka mu kibuga ekimu mu Amerika, (n’okwetoololoa ensi yonna), wandivuddeyo n’ebigambo bye bimu. Byonna byatandika Mandy de Waal bweyawandiika ‘olukalala lwab’entimbagano za yintanenti abamaanyi’,naye ne yesanga nga yeerabidde okubaako omuddugavu n’omu gwawandiise. Nga buli kiseera abeera alaba, Ramon Thomas yaddamu bweyamenya agamu ku mannya ga bakafulu mu ntimbagano za yintanenti, nga bano bonna ssi bazungu. Kino nakyo kyaleetawo obutakkaanya wamu nokulowooza ennyo. Akafubo kano kali ku bya South Africa yokka okumala akaseera, mu nkomerero nekajja ku buloogo ya Ravens bwe yawandiika ebigambo ebyasinga okuzibula abantu amaaso. most insightful comment Yawandiika nti…
Ebiwandiiko bino ebibiri kyebitangaaza kya kuba nti waliwo obulemu mu nkwaatagana. Ekikula ky’abantu okukwaatagana mu mpisa (mu nsi yennyini) watera okubaawo enfaanagana mu buli kimu, okutandikira wansi okutuukira ddala ku byamasekkati. (Ebyawaggulu bitera okubeeramu enjawulo). Okuleetawo enjawulo mu bitundu ebimu kiba kikulu nnyo okusiga ensigo z’okukolagana n’abalala. Ekyo nga omaze okukikola, ebintu biba bigenda kwegatta byokka.
Kino kituufu, nga oyagala okulaba ekyokulabirako nga tekikwaata ku bya langi oba mawanga olabe okwaawula engeri gye kujjamu, tunuulira ebirowoozo bya Robert Scoble ku maanyi g’okwegazaanya nabala. Naye bwolaba bino on this list, okuwakana kuddayo eri enjawulo n’obungi mu bintu. Abantu b’okulagana nabo nga omuntu basalawo emikisa gyogenda okufuna mu bulamu. Okuviira ddala bwe wazaalibwa, wabeerawo omuwendo gwemikwaano ogukendeera oba ogweyongera. Okubeera omuganzi kintu kya bugagga. Amazima gali nti ensonga enkulu lwaaki abantu beemulugunya olw’emikwaano egili ennyo awamu eri nti abantu bano be batera okubeera wabweeru wemikwaano gino nga bagezaako okulaba engeri gye bayinza okuyingiramu.
Nnina ku ndowooza eyenjawulo. Okubeera omuddugavu, era nga nnabeerako mu lukonko lwa Silicon Valley nga ngezaako okulowooza ku ngeri gye nnyinza okutandikawo bu bizinesi bwange, kitangaavu gyendi nti ebibiina bingi bigezaako okufuna enjawulo mu bintu. Ebiseera ebisinga tewali bakazi bangi oba abamawanga amatono bagezaako kusaba bifo. Neera, bwekituuka ku kutandikawo bu kampuni obutono, wadde nga abamu bagezaako okwenyigiramu, omuwendo gw’abo abagezaako mutono nnyo ku bantu abaliwo. Ssi lwakuba nti kampuni tezigenda kuwandiika bakozi oba kuwa abantu abamanyi ebintu byaabwe ntandikwa nti kubanga baddugavu, bayindi, n’abalala. Ate ekyenjawulo, ndowooza nti ebibiina bingi bilaba nti okubeera n’abantu abenjawulo ku mulimo kya bugagga. Mu kiseera kye kimu, olina okumanya byokola. Bwekyatuuka kunze, wewaawo ebirowoozo byange tebyatunda oba ssalina bisaanyizo abakulu mu San Francisco bye baali banoonya mu bantu abatandikawo bu kampuni. Nga tewannayita na mwaaka, nfunye ekkubo eddala okunoonya ekyo kye nnali njagala era ebintu bitambula bulungi. Kati abantu baagala byenkola. Abantu abamu balina okuyiga nga balagibwa nti baali bakyaamu. Ssi kugamba nti okola ebintu na busungu, kigenda kubeera kya buliwo nti waliwo ebintu ebyawukana ku kimanyiddwa outliers . Ebyaawukana byo bibaawo, nga tekiva mu busungu.
Naye nnina endowooza eyenjawulo. Olukonko lwa silicon vallleey telwazimbibwa na magezi matono wadde nga abantu ba ndowooza yemu be baagizimba. Bano be bantu abasinga okumanya omulimu gwaabwe, awatali kufaayo wa gye bava oba bafaanana batya. Wakyaliwo ensonga lwaki abantu nga Serge Prin, Eric Schmidt, Steve Jobs ne Bill Gates baaleetawo ekyukakyuuka eyomuggundu. Kisukka ku birowoozo byaabwe, kki kye bali nga abantu oba amagezi gaabwe gokka. Bintu ebyo byonna nokusingawo. Oba be bantu abaali basinga obulungi mu kifo ekituufu mu budde obutuufu, naye okubeera omuntu oyo olina okusooka okubeera mu kifo ekyo, ekitali ekyo toliberayo mu budde obutuufu. Bwoba oyagala okubeera mu kabondo ako olina okukola bye bakola, era ozannye nga bwe bazannya. Bwoba tolina mikisa gye gimu gye baafuna okugendayo okutandika, awo nno oli mukweekolera kkubo era mu ndowooza yange, ekyo kye kifo ekisinga obulungi okubeeramu mu nsi.
Ssiwulira nga eyandyagadde nzikirizibwe okukola mu Google oba Facebook oba awantu awalala wonna okujjuza omutemwa ogumu. Njagala mbeereyo nga omuntu alina ebisaanyizo era agenda okuleeta ekyenjawulo ku mmeeza. Nnebwennadibadde nga nnina amabeere oba nga ndi wa langi ndala, nkakasa nti nnandibadde mpulira kye kimu.
Nzikiriza nnyo nti bulijjo wabeerawo okugenda mu maaso. Bulijjo wabeerawo ekyokuluubirira. Era bulijjo wabeerawo omuntu asinga. Kifuule ekiruubirirwa kyo okummegga omuntu oyo (oba abaantu abo) mu ekyo kye basinga okukola nga ofuuka omukulembeze mu ekyo kyomanyi. Bwe baba nga ‘abalenzi abanene’ tebajja kukukkiriza kuzannyira mu kisaawe kyabwe, tandika omuzannyo ogugwo. Ojjakwesanga nga bazze banoonya omuzannyo gwe bataliimu.
Bwonalekelaawo okugezaako, ojjakutandika okusaanyukira ebitawera.
Ekifaananyi kya Jakob Lodwick kya Zach Klein kyaakozesebwa mu nkola ya Creative Commons

About the author: Kwagala Derrick is a Ugandan computer-scientist (Programmer), social entrepreneur and educator. He's passionate about Information Technology literacy & Professionalism, mobile and Internet accessibility for all on the multilingual-multicultural African Continent.
Dieser Eintrag wurde veröffentlicht in Luganda. Bookmarken:
Permanent-Link. oder ein Trackback hinterlassen:
Trackback-URL.
Omutimbagano ogutaliimu bonna n’obulemu mu nkwaatagana (Ekitundu ekisooka)