IBM yegasse ne Canonical okukendeeza ku bbeeyi ya bu kompyuta obutono obuyitibwa netbooks. Basuubira okukozesa enkwaso eziri ku yintanenti okukendeeza ebbeeyi ya sofutiweya wamu nebitundu bya kompyuta ebyebbeeyi. netbooks zino zijja kujja nga osobola okuwereza ebbaluwa ya email, okukola ebiwandiiko, okuwanyisiganya obubaka, wamu n’okwegazanya n’abalala. Triangle Business Journal ewandiika…
Bizinesi nnyingi mu Afirika tezisobola kugula kompyuta eri abakozi baabwe bonna. IBM ne Canonical baagala okukyuusa kino, babeeko kye bakola ku katale ka Afirika, nga bawaayo netbooks eziddukanyizibwa ku Ubuntu Linux - eno Linux ya bwerere okuva mu Canonical, nga evuganya ne Windows eyebbeeyi etundibwa Microsoft era ekozesebwa ku kompyuta ezisinga obungi mu ensi.
Wadde nga okuyingirawo kwa kompyuta ez’essente entono kwamaanyi ku ssemazinga ono, ssiri mumativu nti ebitundu by’amaserengeta ga Sahara bino byetegefu okukozesa tekinologiya ono. Okukwatagana kweyongedde okuba okwesente entono, naye era kukyaali kwa bbeeyi eri bizinesi entonotono wamu n’abayizi. Nabo ku ffe abalina yintanenti mu ofiisi, omuyungo guno gutera okuba nga munafu nnyo nga tegusobola kukozesa tekinologiya ono gwe baagala okukozesa owa cloud.
Laptop enkadde nga za sente ntonoko, nga zikyaali za maanyi okusinga netbooks empya ezisinga, nazo kiddukiro kirungi eri bizinesi entono. Ebiseera ebisinga, okwongera amaanyi mu kujjukira (RAM) kimala okufuula lap top eno okukola nga kompyuta empya, naye nga okozesezza sente eziri wansi wa kimu kyakubiri kyokugula empya. Essimu za Smartphones ezisobola okukwatagana ne netbooks nazo kiddukiro kirungi naye tulina okusooka okulaba nga ab’ebyempuliziganya bakendeezeaa ku miwendo kiryooke kibeere ekyamagezi.
“Netbooks za Afirika” bu butuufu nkola ya bizinesi mpanguzi, okusingira ddala mu bifo nga South Africa ne mu buvanjuba bwa Afirika, okuyungibwa ku mikutu gye kukulaakulanye ennyo. Wabula, nga mu America, ssi kiddukiro kirungi okuva ku zi kalimagezi za lap top ezamaayi, naddala mu bifo okuyungibwa nga bakozesa tekinologiya wa cloud gye kiyinza obutasoboka.
About the author: Kwagala Derrick is a Ugandan computer-scientist (Programmer), social entrepreneur and educator. He's passionate about Information Technology literacy & Professionalism, mobile and Internet accessibility for all on the multilingual-multicultural African Continent.
This entry was posted in Luganda and tagged canonical, IBM, netbooks. Bookmark the
permalink. or leave a trackback:
Trackback URL.
Kalimagezi eri Afirika: IBM ne Canonical Begasse