AMD nga be bamu ku basinga okukola obuuma okubeera enkwaaso z’okukozesa mu kalimagezi (chip) bakozeeyo ka chip akapya ke bayise Congo. Ka kompyuta akatono akaasooka okukolera ku tekinologiya ono kalangiriddwa jjuuzi mu Ferrari One. Era nga bwe kyabadde kisuubirwa, AMD banenyezeddwamu olwokutuuma ka chip kano erinnya Congo nga ate Coltan nga kino kya bugagga ekisimwa mu Congo agambibwa nti y’omu ku bivuddeko okunyigirizibwa, entalo mu mawanga, okutulugunyizibwa wamu n’obusambattuko obulala obuli e Congo. Coltan akozesebwa okukola bu chip obumu obuli mu masimu wamu ne mu kompyuta.
Omumyuuka wa Pulezidenti ow’okuntikko era nga ye akulira okubunyisa AMD nga ye Nigel Dessau yayogedde bino ku mukutu gwa yintanenti:
AMD enenyezeddwaamu gyebuvuddeko kubanga twatuuma ka chip kaffe akapya erinnya ly’omugga ‘Congo’, nga erinnya erikazibwaako. Abamu kino tekyabayisa bulungi, era nga twali tetukigenderedde chip eno okukwataganyizibwa n’eggwanga lya DR Congo. Nga bwe kibadde, kubanga twali tusemberedde okutongozebwa kwaako, twaali wakati w’okukyuusa erinnya tukozese eryo lyennyini eryaali linnyonnyola obulngi nga lye “2nd Generation Ultrathin Platform” naye ate abamu ne balowooza nti tuli batiitiizi.
Njagala okukinnyonnyola kati buli omu akitegeere. Kino kye kyabaawo.
Ku D7 omwaka guno nnalaba okwolesa kwomuwandiisi w’emizannyo era omulwanyirizi w’eddembe Eve Ensler nga ayogera ku “ebifulumizibwa ebitaliimu buliisa maanyi”. Nnina okukkriza nti nga ekyo tekinnabawo nnali ssimanyi busambattuko buli Congo. Osobola okweyongera okumanya Eve bye yayogera wano.
Kumpi mu kiseera kye kimu, abalala abaali banyigiriziddwa ku buvuyo buno n’era mu butali bugenderevu batandika okussaawo enkolagana wakati werinnya lyaffe lino (nga lyaali lisuubirwa okuba nga lya kyaama naye lyaafuluma) n’ekubambulira ekiri e Congo, era kino nekigenda ku mikutu egimu ku yintanenti. Era bino byonna byaliwo nga tuli mu mugendo gw’okukyuusa erinnya lino tugiyitire ddala errinnya ettongole (mu ngeri y’emu ‘Yukon’ yafuuka ‘Ist Generation Ultrathin Platform’), n’olwekyo chip eno twaali tutandise okugiyita ’2nd Generation Ultrathin Platform’.
Okusinziira ku wikipedia: Coltan lye linnya mu Afirika erikozesebwa okuyita Columbite - tantalite, ekyuuma ekiddugavu omuva niobium (nga yayitibwanga columbium) wamu ne tantalum. ekyobugagga kino kisingamu columbite, kwe kutandika ekitundu kyaakyo n’erinnya ‘col’. Okutambuza Coltan mu bubba kogambibwa okuba nti ye engeri esinga okufuna sente eri abasirikale abali e Congo. Omukutu ogumu ogwa ‘Toward Freedom’ gugamba nti okunoonya Coltan kwongedde ku ntalo z’e Congo; nti obwagazi bwekyobugagga kino kireetedde ebibiina ebirwanyi okuva e Rwanda wamu ne kampuni ezisima ebyobugagga nga ziva bulaaya okwagala obukadde bwa ddoola mu kyuuma kino ekitasangika, nga oluusi bakaka abasibe abakwatiddwa mu lutalo wamu n’abaana abato okukola mu birombe bino.
Kiki ky’olowooza? Twetaaga kompyuuta n’amasimu ebitaliimu ntalo?
About the author: Kwagala Derrick is a Ugandan computer-scientist (Programmer), social entrepreneur and educator. He's passionate about Information Technology literacy & Professionalism, mobile and Internet accessibility for all on the multilingual-multicultural African Continent.
This entry was posted in Luganda and tagged adm, chip. Bookmark the
permalink. Both comments and trackbacks are currently closed.
Enkwaaso ya ADM Eyitiddwa Congo, Tetwagala Ntalo